Uganda ewezezza abalwadde ba Covid-19 1,000 oluvanyuma lw’okuzuula abantu 23 nga balwadde kw’abo 3,316 abaakebeddwa, olunnaku olw’eggulo.
Ku balwadde 23, 12 bannayuganda abagiddwa mu nsi z’ebweru, 8 okuva mu Afghanistan, 3 DR Congo, 1 South Sudan nga bonna baasangiddwa mu Kalantini.
Ate 3 baddereeva okuli ku nsalo y’e Mutukula, Afogi ne Madi, ate 8 kigambibwa baaliko n’abantu abalwadde nga 4 bagiddwa Tororo ate 4 okuva e Hoima, Luweero, Kyotera ne Arua.
Mungeri y’emu baddereeva 31 abazuuliddwa nga balwadde okuli bannansi ba Kenya 24, Tanzania 3, Congo 2, Rwanda 1, South Sudan 1 bonna baziddwayo mu nsi zaabwe.
Okusinzira ku Dr. Henry Mwebesa akulira eby’obujjanjabi mu minisitule y’ebyobulamu, wadde Uganda ewezezza abalwadde 1000, yakasiibula abantu 908 ate abantu 219, 627 beebakagibwako Sampalo okubekebejja.
Mu nsi yonna, Uganda y’emu ku nsi, ezikoza obulungi mu kulwanyisa Covid-19 nga bangi ku balwadde basiibuddwa ate tewali muntu yenna yafudde.
Download the Galaxy FM 100.2 App and listen to the radio while on the move.