Poliisi ekutte ssemaka ku misango gy’okwagala okutta mukyala we ku kyalo Kabirizi mu ggoombolola Nyakabungo mu disitulikiti y’e Rubanda.

Kyarikunda Gideon yakwattiddwa ku misango gy’okukwata ejjambiya naasala mukyala we Nyinamugisha Olivia obulago.

Poliisi egamba nti omusajja, yasangirizza mukyala we ng’ali wa neyiba mu lugambo ku ssaawa nga 1, akawungeezi k’olunnaku olw,eggulo ku Lwokuna nga 9, Ogwomusanvu, 2020 era bwatyo yakutte ejjambiya, naamusala obulago.

Omukyala yagudde wansi ng’omusaayi gumuggwaamu era amangu ddala abatuuze, baasobodde okumuddusa mu kalwaliro akali okumpi aka Junamagara Clinic okutaakiriza obulamu.

Elly Maate omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi, agambye nti ssemaka Kyarikunda ali mu mikono gyabwe ku misango gy’okwagala okutta omuntu era Poliisi etandiise okunoonyereza lwaki yabadde amaliridde okutta mukyala we.