Ekitongole ky’amaggye ga UPDF kisambaze ebyogerwa nti omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni yayimirizza ebikwekweeto n’emirimu gya LDU mu ggwanga lyonna.

Okuva akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo, amawulira gabadde gayitingana nti omukulembeze w’eggwanga yayimirizza emirimu gya LDU nga kivudde ku bantu okweyongera okulajjana ku nneyisa yaabwe omuli n’okubatimpula emiggo n’okusingira ddala mu kiseera kino eky’okulwanyisa Covid-19, nga balina okuteekesa mu nkola, ebiragiro ebyateekebwawo.

Maj. Bilal Katamba
Maj. Bilal Katamba

Wabula Bilal Katamba omwogezi w’ekibinja ekisooka ekya UPDF era omwogezi wa LDU agambye nti, emirimu gitambula bulungi, tebanafuna kiwandiiko kyonna wadde ekiragiro okuva eri abakulu, ku nsonga za LDU.

Mungeri y’emu agambye nti ebigambo ebiyitingana, byabulimba mu kiseera kino.

Eddoboozi lya Katamba