Kyaddaki Omuyimbi Dr. Jose Chameleone alaze lwaki akawungeezi ka leero eggyeeyo empapula okwesimbawo ku bwa Loodi Meeya mu kulonda kwa 2021 mu kisinde kya Peope Power.

Chameleone ng'aweebwa Kaadi ya DP
Chameleone ng’aweebwa Kaadi ya DP

Omwaka oguwedde ogwa 2019, Chameleone yaweebwa kaadi y’ekibiina kya Democratic Party (DP) era naweebwa obuvunaanyizibwa nga ssaabakunzi wa DP kyokka ekibiina ekivuddeko olwa People Power.

Chameleone kyaddaki abikudde ekyama lwaki abadde alina okwesimbirawo mu kisinde kya People Power.

Chameleone ku kitebe kya people Power e Kamwokya
Chameleone ku kitebe kya people Power e Kamwokya

Agamba nti olunnaku lwe yakyalira Bobi Wine e Nsambya, yamufalaasira okudda ku ludda lw’abantu okukyusa obukulembeze bw’eggwanga kuba obuyinza buli mu bantu.

Mungeri y’emu agamba nti Bobi Wine yamutegeeza, “saagala obeere mutitiizi, abasajja betutya batutya nnyo, batya amaanyi g’abantu era mu biseere ebyo yali agenda USA okufuna obujanjabi“.

Chameleone era agambye nti Bobi Wine yasaba abawagizi b’ekisinde kya People okumwekeneenya wabula mu bbanga lya mwaka gumu n’ekitundu kyaddaki bonna bakkiriza nti musajja ali ku maziga.