Poliisi y’e Mpigi ekutte omusajja ku misango gy’okusiyaga omulenzi omuto ali mu gy’obukulu 11 ku kyalo  Busera mu ggoombolola y’e Nkozi.

Mukwaya Kasim yakwattiddwa era mu kiseera kino ali mu mikono gya Poliisi.

Poliisi egamba nti Mukwaya yalumbye omukyala Nassozi Grace ku kyalo kye kimu naamusaba mutabani we, bagende bombi okuvuba obudde obw’ekiro.

Wabula Mukwaya olwamuwadde omwana ku ssaawa nga 1 ey’akawungeezi, yamukutte makaage, era mu kiro kwe kumusobyako.

Omwana yakubye enduulu nga tewali ayamba era kigambibwa yamutadde ebigoye mu kamwa okutuusa ku makya lwe yaddukidde ewa nnyina.

Fred Enanga, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga agambye nti omusajja, Poliisi yamukutte dda nga n’omwana aweereddwa obujanjabi.

Eddoboozi lya Enanga