Poliisi ekutte omusajja ku misango gy’okusobya ku mwana omuto myaka 13 ku kyalo Ttaba Bbinzi mu ggoombolola y’e Mpenja mu disitulikiti y’e Gomba.
Omwana eyasobezeddwako abadde muyizi ku Buyinjabutole Primary School.
Sunday Ronald myaka 38 nga mutuuze ku kyalo kye kimu, yasangirizza omwana bwe yabadde akimye ebisagazi by’ente namukwata, namutwala mu ssamba lya kasooli, namusobyako.
Omwana yavuddeyo ng’ali maziga, kwekutegeeza ku bazadde, abaasitukiddemu okuyita Poliisi.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, omwana ateekeddwa ku ddagala erimutangira okulwala nga n’omusajja akwattiddwa ku misango gy’okujjula ebitanajja.
Mungeri y’emu akubirizza abazadde okufaayo nnyo ku nsonga z’abaana baabwe okutangira abasajja nga Sunday abeegumbulidde okubasobyako.
Eddoboozi lya Enanga