Minisitule y’ebyenjigiriza ebikudde ekyama nti bakyalinda Minisitule y’ebyobulamu, okulambika ku ngeri y’okuggulawo amasomero mu ngeri y’okutangira abaana okulwala.

Okusinzira ku Minisita omubeezi  ku byenjigiriza ku by’amatendekero aga waggulu John Chrysostom Muyingo, Minisitule y’ebyenjigiriza, yetegese bulungi ddala okuddamu okusomesa abaana b’eggwanga kyokka balina okulinda okulambikibwa, ku ngeri y’okutangira Kolona okusasaana.

John Chrysostom Muyingo
John Chrysostom Muyingo

Minisita agamba nti afunye okusaba kw’abayizi ab’enjawulo ssaako n’abazadde ku ky’abaana okudda ku massomero wabula ne Gavumenti erina okutangira abantu okulwala, nga y’emu ku nsonga lwaki amasomero gakyali maggale.

Asabye abazadde ssaako n’abaana okusigala nga bakakamu okutuusa nga Minisitule y’ebyobulamu etaangazizza ku ngeri y’okutangira abaana okulwala nga bazzeeyo ku massomero.

Minisita Muyingo bw’abadde alambula amassomero mu disitulikiti y’e Kasese agaakoseddwa amataba, alabudde abazadde okulambika abaana mu kiseera kino n’okubayambako mu kusoma kwabwe.

Minisita agumizza eggwanga nti Gavumenti yakwongera okuteeka ssente mu kusomesa abaana nga basinzira ku TV ne Laadiyo.

Eddoboozi lya Minisita