Bya Nalule Aminah
Dr. Stella Nyanzi eyaliko omusomesa ku yunivaasite e Makerere kyaddaki akunamidde abasirikale abakedde okumukwata enkya ya leero.
Dr. Nyanzi abadde agenda ku Palamenti n’abamu ku bayizi ku yunivaasite e Makerere okuwa sipiika ekiwandiiko kyabwe nga bemulugunya ku kyaviiriddeko Emmanuel Tegu, abadde omuyizi ku Yunivasite e Makerere okufa.
Tegu yabadde omwaka ogusembayo ng’asoma byakujanjaba bisolo era yafiiridde mu ddwaaliro e Kiruddu ku Lwokutaano nga 3 omwezi guno Ogwomusanvu, oluvanyuma lw’okukubwa nga 27 omwezi oguwedde Ogwomukaaga Okumpi ne yunivaasite e Makerere.
Poliisi yakutte abantu abasukka 10, wabula abamu baayimbuddwa era yasigazza abantu 4 nga bakulembeddwamu Kansala Oigu Charles ku misango gy’obutemu.
Enkya ya leero, Dr. Stella Nyanzi eyeegwanyiza eky’omubaka omukyala owa Kampala ng’ali wamu n’abayizi ku yunivasite e Makerere, bakedde kutambula okuva ku Parliamentary Avenue okutwalira sipiika wa Palamenti ekiwandiiko kyabwe wabula Poliisi ebakutte basembedde okuyingira Palamenti.
Dr. Nyanzi olukwattiddwa, asituddwa abasirikale abakyala okumutwala mu kabangali ya Poliisi wabula olutuuse mmunda, wakati mu kwesika n’abasirikale, abakunamidde era kabuze kati okubalaga ebitundu by’ekyama.
Nyanzi akwattiddwa n’abayizi 2 okuva e Makerere.
Nga tebanakwatibwa Dr. Stella Nyanzi n’abayizi 2 abakwattiddwa, bagamba nti balina okutegeezebwa ekyavaako Tegu okukubwa n’okutuusa okufa.






