Abatuuze ku kyalo Kihumuro mu ggoombolola y’e Mugarama mu disitulikiti Kibaale baguddemu ekiyongobero mutuuze munaabwe bw’attiddwa mu kiro, ekikeseza olwaleero.
John Sunday myaka 28 attiddwa, ng’abatemu basobodde okweyambisa enkumbi n’ejjambiya era atemeddwa ku mutwe, olubuto, emikono ng’omulambo gwe, gusangiddwa mu kitaba kya musaayi mu nimiro ku kyalo Kihumuro.
Poliisi esobodde okwekebejja ekifo, era amangu ddala ekutte abantu babiri (2) Ismail Ahebwa n’omulala ategerekeseeko erya Mbabazi nga bonna batuuze ku kyalo, ku misango gy’obutemu.
Julius Hakiza, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Albertine agambye nti abakwate, bakutwalibwa mu kkooti ku misango gy’obutemu essaawa yonna oluvanyuma lw’okuzuula lwaki benyigidde mu kutta Sunday.