Sipiika wa Palamenti Rebecca Kadaga atabukidde Gavumenti okuvaayo okutangaza eggwanga ku nsonga y’okulemesa bannansi okuddamu okutambuza emirimu gyabwe wabula neesalawo, okubakuumira kumuggalo.

Kadaga agamba nti Gavumenti erina okuvaayo, okutegeeza eggwanga wetuuse mu kulwanyisa Covid-19 okusinga bannansi okubakuumira mu nzikiza nga bali ku muggalo.

Agamba, Gavumenti yandibadde esomesa bannansi ku ngeri y’okwetangira obulwadde nga bali ku mirimu gyabwe okusinga okubakuumira ku muggalo nga amassomero maggale, amasinzizo, Akeedi ezimu, essaawa za Kafty nga byonna binyigiriza abantu mu kutambuza obulamu.

Mu Palamenti akawungeezi ka leero, Sipiika alagidde ssaabaminisita okwetekateeka, okutegeeza Palamenti amakulu g’okukuumira bannansi nga bali ku muggalo era basuubira bagenda kuggyawo ddi kuba Covid-19 akyaliwo.

Ate Nampala w’oludda oluvuganya mu Palamenti Ibrahim Ssemujju Nganda era omubaka we Kira, agambye nti Gavumenti erina okuddamu okutegeeza eggwanga ne Palamenti wetuuse mu kulwanyisa Covid-19 buli sabiti.

Agamba, kigenda kuyamba nnyo okumanya Covid watuuse mu Uganda, obulabe ssaako n’okutema empenda ku ngeri y’okwetangira okulwala.

Webuzibidde nga Uganda erina abalwadde 1,040 ate abasiibuddwa 984.

Eddoboozi lya Kadaga