Ekibiina kya Forum for Democratic Change- FDC kigaanye empapula z’omubaka omukyala owa Kampala Nabilah Naggayi Sempala ez’okwesimbawo ku kifo kya Loodi Meenya mu kulonda kwa 2021.

Nabilah abadde ayagala kaadi ya FDC okuvuganya Omuloodi Ssalongo Erias Lukwago wabula ssentebbe w’akakiiko k’ebyokulonda mu kibiina kya FDC Boniface Bamwenda agambye nti nsalesale w’abantu okuzaayo empapula yaweddeko akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo nga 14, Omwezi guno Ogwomusanvu.

Mu kwogerako eri bannamawulire ku kitebe kya FDC e Najjanankumbi, Bamwenda agambye nti Nabilah akikoze akigenderedde okomyawo empapula nga nsalesale yaweddeko olunnaku olw’eggulo.

Eddoboozi lya Bamwenda

Nabilah agamba nti tagenda kupowa okutuusa nga yesimbyewo ku bwa loodi Meeya mu kulonda kwa 2021.

Agamba nti abakulembeze ku magombolola Kampala kwetudde, basanyufu olw’okuvaayo okwesimbawo era mu kiseera kino ssabawandiisi wa FDC n’akakiiko k’ebyokulonda bebasigadde okusalawo ku ky’okumuwa kaadi ku bwa Loodi Meeya.

Eddoboozi lya Nabirah

Wabula kigambibwa FDC okuba ku lusegere n’omuloodi Ssalongo Erias Lukwago y’emu ku nsonga lwaki, balina okulemesa omuntu yenna okuva mu kibiina kyabwe okumwesimbako nga bakyetaaga obukulembeze bwe mu Kampala.