Namukadde myaka 75 kabuze kata okufuyisa mu Mpale, bw’akubiddwa emiggo 100 lwa kusobya ku muwala we ali mu gy’obukulu 16 namutikka olubuto.

Ssedduvutto Khalidi Tawoda nga mutuuze ku kyalo Bubulanga mu Tawuni Kanso y’e Kamonkoli mu disitulikiti y’e Budaka, yakubiddwa emiggo 100 wakati mu kulajjana.

Kigambibwa yasuubiza omwana ensimbi singa asirikira ensonga kyokka oluvanyuma aba famire baakitegedde nti omwana yafunye olubuto kwekutegeeza nti kitaawe yamusobyako.

Taata ku myaka 75 bw’abadde mu lukiiko lwa Famire ssaako n’ekyalo, bamugyemu engoye ne bamuleka mu Kapale k’omunda ne bamukuba emiggo 100 nga tebamukkiriza kwatayo.

Aba famire bakkiriziganyizza ensonga okuzimalira ebweru w’amateeka newankubadde Omusango gubadde gutwaliddwa ku Poliisi y’e Kamonkoli.

Wabula addumira Poliisi y’e Bukedi North Cyrus Omalla, agamba nti omukadde balina okumutwala mu kkooti kuba omusango gw’okusobya ku mwana omuto gwanagomola.