Akakiiko ka Palamenti akalungamya ebyenfuna by’eggwanga kasabye Minisitule evunaanyizibwa ku byenjigiriza mu ggwanga Uganda, okusazaamu omwaka 2020 ogw’ebyenjigiriza.

Abakakiiko nga bakulembeddwamu omubaka wa Ayivu Bernard Atiku, bagamba nti ebbanga liweddeyo abaana okudda ku masomero okusoma n’okutuula ebigezo ebyakamalirizo.

Omubaka Atiku agamba nti Uganda yandibadde erabira ku baaliraanwa baffe okuli Kenya, omwaka 2020 ogw’ebyenjigiriza okusazibwamu, omwaka ogujja ogwa 2021, buli mwana okudda mu kibiina, okusinga okubasindika okudda ku masomero wakati mu kulwanyisa Covid-19 ate nga n’eggwanga liri mu ketalo ka byabufuzi.

Mungeri y’emu Atiku agamba nti okuva kati okutuusa mu Desemba, tewali budde abayizi okudda ku masomero.

Eddoboozi lya Atiku

Ate ssentebbe w’akakiiko Hajjati Syda Bbumba, agamba nti okusindika abaana okudda ku massomero wakati mu kulwanyisa Covid-19, kiyinza okuvirako amasomero agamu okuggalawo olw’okulemwa okutuukiriza ebisanyizo.

Minisita Muyingo
Minisita Muyingo

Wabula Minisita Omubeezi avunaanyizibwa ku byenjigiriza ebyawaggulu John Chrysostom Muyingo, agambye nti Minisitule y’ebyenjigiriza yetegese bulungi ddala abaana okudda ku masomero wabula bakyalinda Minisitule y’ebyobulamu okulambika ku ky’amassomero okuggulwawo.

Mungeri y’emu agambye nti Minisitule y’ebyenjigiriza mu kiseera kino terina ntekateeka yonna okulangirira nti omwaka 2020 ogw’ebyenjigiriza gusaziddwaamu.

Eddoboozi lya Muyingo