Sipiika wa Palamenti, Rebecca Kadaga alagidde Minisita w’emirimu n’entambula okwanjulira Palamenti, entekateeka Gavumenti gye lina okuyamba abantu bonna abali mu mulimu gwa bodaboda mu ggwanga.
Mu Palamenti akawungeezi ka leero, Kadaga agamba nti Gavumenti yalemesa bodaboda okutambuza abantu nga tekoze ntekateeka yonna, okubanoonyeza eky’okulya ate nga bangi balina famire, balina okunoonya eky’okulya, okupangisa amayumba ssaako n’okutambuza amaka.

Alagidde Minisita w’ebyentambula, sabiti ejja ku Lwokubiri nga 21, July, 2020, okutangaza Palamenti ku nsonga ya bodaboda n’entekateeka yaabwe ey’okubakiriza okuddamu okutambuza emirimu oba okubawa emmere mu bwangu.
Eddoboozi lya Kadaga
Kadaga okutabuka, kidiridde aba bodaboda mu disitulikiti y’e Kaliro nga bakulembeddwamu omubaka we Bulamogi, Kenneth Lubogo okuddukira mu Palamenti nga basaba Gavumenti ebakkirize okuddamu okutambuza abantu naye embeera esukkiridde okubanyigiriza.
Wabula Minisita Omubeezi ow’ebyentambula n’emirimu Joy Kabatshi agamba nti bodaboda okutambuza abantu n’okutuuka mu buli kitundu, singa bakkirizibwa okuddamu okutambuza emirimu, ekigenda kuba kya bulabe mu kutambuza Covid-19.
Kinnajjukirwa nti Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yayimiriza bodaboda okuddamu okutambuza abantu mu March, 2020 kuba kiyinza okutambuza Covid-19 era mu kiseera kino balina kutambuza bitereke byokka.