Omuntu omu afiiriddewo ate 5 banyiga biwundu  nga batwaliddwa mu ddwaaliro nga bali mu mbeera mbi nga kivudde kabenje akagudde mu Tawuni Kanso y’e Bombo mu disitulikiti y’e Luweero ku luguudo oluva e Kampala okudda e Gulu.

Kigambibwa akabenje kavudde ku mmotoka y’abasirikale b’ekitongole eky’amakkomera namba UG-0163U ebadde atwala abasirikale abasukka 30 okuva e Luzira okutwalibwa e Nakasongola oluvanyuma lw’okufundikira okutendekebwa.

Kigambibwa emmotoka agaanye okusiba ne yefuula emirundi egiwera ekivuddeko omusirikale okufa.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Savannah  Isah Semwogerere Kibazo, omusirikale afudde ye Edgar Tumuhimbise era omulambo gutwaliddwa mu ddwaaliro ly’amaggye e Bombo ssaako n’abo abafunye ebisago.

Emmotoka, etwaliddwa ku kitebe kya poliisi Bombo nga Poliisi bwenoonyereza ekituufu ekivuddeko akabenje.