Poliisi mu Kampala ekutte abatembeyi babiri (2) ku misango gy’okwagala okutta abakozi b’ekitongole ki KCCA mu Kampala enkya ya leero.

Abatembeyi abakwattiddwa kuliko Juma Akankwasa ne Charles Nsereko ku misango gy’okwagala okutta abantu.

Akankwasa akutte ekiso nakifumita abakozi ba KCCA 2 mu Ppaaka empya ate Nsereko ekimukwasiza abadde alemesa eky’okukwata mukwano gwe Akankwasa.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango, aba KCCA nga bakulembeddwamu Isaac Egesa Obuli, bakedde mu ppaaka empya ogonjola obutakaanya obuli ku siteegi y’e Masaka ssaako ne Ssembabule ku nsonga y’okutambuza emirimu.

Onyango agamba nti Omutembeyi Akankwasa asooberedde owa KCCA, namutuunga ekiso olw’ensonga etamanyiddwa, oluvanyuma nadda ku mukozi omulala nga naye wa KCCA abadde ayagala okumugyako ekiso naye namufumita.

Mu kiseera kino abakwate bali ku kitebe kya Poliisi mu Kampala ekya CPS ate aba KCCA, batwaliddwa mu ddwaaliro lya Novik ku luguudo lwe Bombo nga bali mu mbeera mbi wakati mu kulukuta omusaayi.

Kitegerekese nti aba KCCA abafumitiddwa ebiso kuliko Mutebi Lameck ng’ali mu mbeera mbi atwaliddwa mu kasenge akagyanjabirwamu abalwadde abayi aka Intensive Care Unit (ICU) ate omulala Lubega John newankubadde ali mu ddwaaliro, tali mu mbeera mbi.