Jjajja w’abayimbi munna NRM Daniel Kazibwe amanyiddwa nga Ragga Dee avuddeyo ku ky’omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine okuwangula obwa Pulezidenti mu kulonda kwa 2021 okubindabinda.

Bobi Wine agamba nti bannayuganda balina okuvaayo mu kulonda kwa 2021, okuggya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni mu ntebe kuba ye ssaawa Uganda okufuna enkyukakyuka.

Wabula Ragga Dee agamba nti Bobi Wine okulya obwa Pulezidenti kisoboka bulungi ddala kuba tewali kitasoboka mu nsi wabula bannayuganda balina okwebuuza ebibuuzo eby’enjawulo.

Omuyimbi Ragga Dee
Omuyimbi Ragga Dee

Bwe yabadde ku NBS TV mu Pulogulamu ‘UNCUT SABULA’, Ragga Dee agamba nti omuntu yenna okuvuganya ku bwa Pulezidenti alina okuba n’obusoobozi bwa ssente okutambula eggwanga okunoonya akalulu, “Pulezidenti Museveni ayinza okuba alina obusoobozi naye Bobi Wine abulina?”.

Mungeri y’emu alabudde abayimbi bonna abeegwanyiza obukulembeze mu kulonda kwa 2021, obutageezako wadde kwewola ensimbi mu bbanka nga bataddayo amaka gaabwe kuba tewali bukakafu bulaga nti balina okuwangula.

Ku ky’abayimbi okwenyigira mu byobufuzi, Ragga Dee agamba nti Gavumenti okulemwa okulambika ekisaawe ky’okuyimba ate nga bannabyabufuzi beyambisa bayimbi okusika abantu mu nkung’aana zzaabwe, y’emu ku nsonga lwaki bangi bavuddeyo okwesimbawo.