Wuuno omukyala atabukidde Frank Gashumba owa Sisimuka Uganda okwagala okutta obufumbo bwe mu kiseera kino eky’okulwanyisa Covid-19 mu nsi yonna.
Olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga, Gashumba yasoose kuteeka ekifaananyi ky’engalo eky’omukyala ku Face Book kwe kutegeeza abagoberezi be nti, “Mugya Kukiliza“.
Nga wayise essaawa emu, era ku Face Book, yataddeyo ekifaananyi ky’omukyala nagamba nti, “Ekyingela kya Allah!!!!!“.

Kigambibwa Gashumba yataddeyo ekifaananyi okuwudiisa abantu nti yafunye omukyala oluvanyuma lw’emyaka nga muwuulu.
Wabula kitegerekese nti omukyala mufumbo okuva mu ggwanga erya Rwanda era ku Face Book yeeyita ‘Rwanda Angelle Sabrina’.
Wakati nga bannayuganda bayozayoza Gashumba okufuna omukyala, Angelle asobodde okweyambisa Face Book okwebuuza ekigenda mu maaso, “Can somebody please explain me what in holy hell going on???…… kwanza Mr Gashumba reply my massages.

Angelle oluvanyuma lw’okusindikira Gashumba obubaka obukambwe, Face Book ye agiggyeyo kuba kigambibwa ebadde eyinza okutta obufumbo bwe.