Poliisi e Mpigi ekutte omwana ku by’okusobya ku mwana munne mwaka 3 ku kyalo Namasawo mu ggombolola y’e Buwama.

Omwana Kibirige Edward ali mu gy’obukulu 14 yakwattiddwa.

Kibirige abadde asoberera omwana nga jjajjaawe atambudde, bamutwala mu nnyumba namusobyako okutuusa omu ku baneyiba bwe yategezezza ku jjajja w’omwana nga muzzukkulu we bw’abadde asobezebwako.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, Omwana akebeddwa nga teyasigiddwa bulwadde ate omwana omulenzi Kibirige ali mu mikono gyabwe ku misango gy’okusobya ku mwana munne.

Enanga agamba nti abazadde okulagajjalira abaana abawala y’emu ku nsonga lwaki n’okubasobyako kweyongedde.

Eddoboozi lya Enanga