Poliisi mu katawuni k’e Bukinda ku kyalo Bukinda 11 mu ggoombolola y’e Kyangwali mu disitulikiti y’e Kikuube ekutte abasajja 2 ku misango gy’okusobya ku mukyala.
Omukyala Habizeera Queen myaka 20 nga mutuuze ku kye kimu yasobezeddwako abasajja okuli Mugabushaka Zabayo myaka 24 ne Nyakojo Xhaka myaka 18 nga bonna batuuze ku kyalo kye kimu.
Fred Enanga omwogezi wa Poliisi mu ggwanga agambye nti omukyala Habizeera ateekebwa ku ddagala lya PEP okumutangira okulwala.
Mungeri y’emu Poliisi ku kyalo Buyanja mu ggoombolola y’e Maddu mu disitulikiti y’e Gomba ekutte omusajja Turyamwijuka Nicholas amanyikiddwa nga Mukiga myaka 25 lwa kusobya ku mukyala omufumbo Nakasuuja Annette myaka 25.
Poliisi egamba nti Annette yasobezeddwako abasajja 4 wabula mu kiseera kino 3 baliira ku nsiko.
Enanga agamba nti okunoonyereza kugenda mu maaso.
Eddoboozi lya Enanga