Bya Nalule Aminah

Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo kye Kikaaya mu ggoombolola y’e Ssumbwe mu disitulikiti y’e Wakiso, omukyala bw’asse bba olw’obutakaanya awaka.

Omukyala Nakibuuka Janati myaka 25 akutte akambe nakatuunga bba Tumwine Kassim myaka 27 mu bulago, era Kassim akulukuse omusaayi okutuusa lw’afudde.

Abatuuze bagamba nti Kassim ne mukyala we baludde nga balina obutakaanya era wakati mu kulwanagana, omukyala Nakibuuka weyafunidde omukisa nakwata akambe nakatuunga bba mu ngeri y’okwetaasa.

Kigambibwa omukyala abadde alumiriza bba obwenzi ng’awaka atuuka mukoowu nalemwa okutuukiriza ensonga z’omu kisenge era omukyala abadde alina ennyonta ya bba mu kaboozi omuli n’okumutuusa ku ntikko.

Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano agamba nti omukyala akwattiddwa ali ku Poliisi y’e Kikaaya ku misango gy’okutta omuntu era essaawa yonna bagenda kumugyayo okumutwala ku Poliisi ya Jinja Road, okuteekateeka fayiro, okumutwala mu kkooti.

Eddoboozi lya Luke