Poliisi e Nansana ekutte omusajja Ssali Wiliam nga kigambibwa nti Kkondo mu kubba emmotoka era abadde anoonyereza ebitongole byokwerinda.

Ssali myaka 32 nga mutuuze ku kyalo Ssekabaka Zzooni mu Divizoni y’e Rubaga yakwattiddwa ng’asaangiddwa n’ebisumulozo by’emmotoka ez’enjawulo 25.

Poliisi emukwatidde ku kyalo Kabulengwa mu Monisipaali y’e Nansana mu disitulikiti y’e Wakiso nga n’emmotoka gy’abadde avuga Toyota Caldina namba UAP 014M nga bulaaka, kigambibwa ebadde nzibe nga yakyusibwa ennamba okuva ku UAV 235M.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, Ssali yasangiddwa ne banne 3 kyokka bonna badduse nga batidde Poliisi okubakwata.

Enanga agamba nti Ssali ali ku Poliisi y’e Nansana ku misango gy’obubbi era okunoonyereza kutandikiddewo.

Eddoboozi lya Enanga