Bya Nalule Aminah
Poliisi y’e Kikuube ekutte omusajja Tugume Jonah myaka 21 ku misango gy’okusobya ku muwala omuto myaka 17.
Tugume nga mutuuze ku kyalo Kiswaaza mu muluka gwe Munteme mu ggoombolola y’e Kiziranfumbi yakwattiddwa ku musango gw’okujjula ebitanajja.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, Tugume akebeddwa ng’alina akawuka akaleeta siriimu era omuwala ateekebwa ku ddagala lya PEP okumutangira okulwala.
Enanga agamba nti ebikolwa eby’okusobya ku baana abawala byeyongedde mu ggwanga era alabudde abawala okwetangira okutambula obudde obw’ekiro.
Eddoboozi lya Enanga