Bya Nalule Aminah
Poliisi etubuulidde wetuuse mu kunoonyereza ku ssemaka eyesse oluvanyuma lw’okuyiira mukyala we Asidi ku kyalo Mukuba, mu Monicipaali y’e Bugiri mu disitulikiti y’e Bugiri.
Sabiti ewedde ku Lwokuna nga 16, July, 2020, ssemaka kati omugenzi Mubiru Rashid myaka 40 abadde omusuubuzi mu zzooni y’e Bugembe yayiira Asidi mukyala we Nantambi Madina myaka 42 oluvanyuma ne yeewa obutwa.
Mubiru oluvanyuma yafadde akawungeezi k’olunnaku Olwomukaaga nga 18, July, 2020 ate omukyala akyali mu ddwaaliro ali mu mbeera mbi.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, okunoonyereza kulaga nti Mubiru yayiiridde mukyala we Asidi ng’abadde amuteebereza okuganza abasajja ab’enjawulo.
Enanga agamba nti ssemaka yayiiridde Nantambi Asidi mu ffeesi okumutta nga kivudde ku butakaanya awaka ku nsonga z’omu kisenge wabula okunoonyereza ku kyavuddeko obutakaanya kukyagenda mu maaso wadde omusajja yafudde.
Eddoboozi lya Enanga