Kyaddaki Poliisi ekutte ssemaka ku misango gy’okusobya ku mwana omuto myaka 7 gyokka egy’obukulu.

Tembo John myaka 32 nga mutuuze ku kyalo Butoole mu ggoombolola y’e Kyangwali mu disitulikiti y’e Kikuube yakwattiddwa.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, Tembo, omwana yamusobyako nga 1, omwezi guno Ogwomusanvu era abadde anoonyezebwa.

Enanga agamba nti omwana ateekeddwa ku ddagala okumutangira okulwala obulwadde bwonna era  kwe kusaba abazadde okwongera okuwa obukuumi abaana baabwe.