Omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi amanyikiddwa nga Bobi Wine enkya ya leero asabuukuludde ekibiina ky’obyobufuzi ekipya ekya National Unity Platform (NUP) okwetekerateekera okulonda kwa 2021.
Bobi Wine ayagala kuvuganya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ku ntebe y’obukulembeze bw’eggwanga lino.
Ekibiina kya NUP, akabonero Ambuleera era agamba nti essaawa yonna okuva kati, kigenda kulonda abakulembeze mu ggwanga lyonna.
Bobi Wine bw’abadde ayogerako eri bannakibiina ku kitebe kya People Power e Kamokya agamba nti kati bafunye ekibiina okwanukula bannayuganda bonna abaludde nga bagamba nti talina kibiina.