Polodyusa Zuli Tums abadde yeegulidde erinnya mu kisaawe ky’okuyimba kyaddaki naye atandiise okuyimba okulaga ensi nti naye alina talenti y’eddoboozi.

Zuli abadde amanyikiddwa nnyo oluvanyuma lw’okuyambako abayimbi ab’enjawulo okufulumya ennyimba omuli Boom Party olwa Sanyu Cindy, Anjagala olwa Maro n’endala.

Mu kiseera kino eky’okulwanyisa Covid-19, Zuli afulumizza oluyimba lwe olusoose, “Tabu” nga lwa ‘dancehall’, lwa mukwano nga lutambula mpolampola.

Agamba nti okuva mu buto ng’alina ekirooto ky’okuyimba era y’emu ku nsonga lwaki abadde muwandiisi wa nnyimba n’okuyambako abayimbi mu situdiyo.

Ebiriwo, biraga nti abadde ayamba Cindy endongo okugikuba naye agiyingidde akooye okumusalizza n’essente eziva mu kisaawe ky’okuyimba.

Vidiyo