Okutya kusanikidde eggwanga Uganda akawungeezi ka leero, Minisitule y’ebyobulamu bw’erangiridde nti efunye omulwadde asoose okufa covid-19.

Bukya Covid atuuka mu Uganda emyezi 4, omukyala asoose okufa Munnayuganda ali mu gy’obukulu 34 era yafiiridde mu kiliniki mu kibuga kye Mbale, ku ssaawa nga 8 ez’ekiro, ekyakeeseza olunnaku olw’eggulo ku Lwokusatu.

Omukyala kati omugenzi abadde mukyala mufumbo era amangu ddala ng’afudde yagiddwako ‘Sampo’ oluvanyuma lw’okutuusibwa mu ddwaaliro ng’alina omusujja, ssenyiga ssaako n’okufuna obuzibu mu kussa.

Dr. Richard Kabanda, Kaminsona mu Minisitule y’ebyobulamu alabudde bannayuganda okwongera amaanyi mu kwetangira obulwadde, okusinda okulinda okulwala.