Ebipya byongedde okuvaayo lwaki Poliisi yakutte omuyimbi wa Kadongokamu Gerald Kiwewa ku nsonga z’oluyimba lwe Nantaba.

Sabiti ewedde ku lunnaku Olwokuna nga 23, July, 2020, Poliisi yakwata Kiwewa kubigambibwa nti omubaka omukyala owe Kayunga Ida Erios Nantaba myaka 40 eyaliko Minisita omubeezi ow’ebyempuliziganya, kompyuta ne tekinologiya yaloopa omusango eri ekitongole kya Poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango ekya CID nti Kiwewa yamuvumidde mu luyimba Nantaba.

Poliisi egamba nti Nantaba yakoze sitetimenti numba GEF 442/2020 ku kitebe kya CID e Kibuli, nga yemulugunya ku luyimba ‘Nantaba era amangu ddala Kiwewa yakwattiddwa okuva mu makaage e Maganjo mu disitulikiti y’e Wakiso.

Mu luyimba “Nantaba”, Kiwewa agamba nti Nantaba alina okwesonyiwa Zaake kuba y’emu ku nsonga lwaki akubwa nnyo.

Poliisi era egamba nti omubaka Nantaba agamba nti oluyimba lwa Kiwewa era lugendereddwamu n’okusiiga obukyayi mu bantu.

Wabula omubaka Nantaba yavuddeyo era yatabukidde ekitongole kya Poliisi okumusiiga enziro nti yalagidde okukwata omuyimbi Kiwewa.

Yagambye nti Poliisi ya Uganda ejjuddemu kawukuumi era y’emu ku nsonga lwaki waliwo abantu bangi abattiddwa nga bekuusa ku Poliisi.

Nantaba yagambye nti ensonga za Kiwewa tazimanyiko wadde era tannaba kulagira Poliisi kumukwata kuba Kiwewa musajja muyimbi alina okunoonya ssente okulabirira famire.

Omwogezi w’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango, Charles Mansio Twine ayogedde naffe ku nsonga z’omubaka Nantaba ne Kiwewa era agambye nti Poliisi eweebwa obuyinza okutangira emisango wadde tewali muntu yenna agenze ku Poliisi kuloopa.

Twine agamba nti waliwo emisango nga Gavumenti terina kulinda muntu yenna kuloopa era y’emu ku nsonga lwaki bavuddeyo mu bwangu ku nsonga za Kiwewa.

Mu kiseera kino okuswala kweyongedde mu kitongole kya Poliisi nga sabiti ewedde Patrick Onyango, omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano yategeeza nti omubaka Nantaba yeyakola sitetimenti ku CID kyokka Twine agamba nti tebalina kulinda muntu yenna kugenda ku Poliisi nga balina okutangira emisango mu bwangu nga n’omubaka Nantaba agamba nti ensonga za Kiwewa tazimanyiko.

Eddoboozi lya Twine