Bya Nalule Aminah
Mu Kampala, Poliisi ekutte abantu 16 abasaangiddwa mu bbaala ya Friends Bar e Nakasero nga bali mu kunywa emisana ga leero.
Ekikwekweeto kikulembeddwamu, Ivan Nduhura akulira ebikwekweeto ku kitebe kya Poliisi mu Kampala (CPS).
Abakwattiddwa, basaangiddwa nga bali mu kunywa bbiiya n’emyenge emirala era tewali ayambadde masiki ate nga bakung’anye, ekiyinza okutambuza Covid-19.
Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano agambye nti abakwate bali ku CPS mu Kampala ku misango gy’okwenyigira mu bikolwa ebiyinza okutambuza obulwadde era okunoonyereza kutandikiddewo.
Alabudde abantu abalina ennyonta y’okunywa ku mwenge, okwesamba ebbaali, nga tebannaba kukwattibwa.
Eddoboozi lya Luke