Poliisi esambaze ebyogerwa nti waliwo omusirikale waabwe eyeenyigidde mu kubba essimu ku munnakibiina kya Forum for Democratic Change (FDC ku lunnaku olwa Mmande.

Poliisi, yabadde yeesika amataayi ne bannakibiina kya FDC okubatangira okufuluma ekitebe oluvanyuma lw’omukolo gw’okwaniriza Omuloodi wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago mu kibiina era kigambibwa waliwo omusirikale eyalonze essimu y’omuwagizi wa FDC wakati mu kwesika amataayi nagitwala.

Patrick Onyango
Patrick Onyango

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango, Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni yabadde agenda kweyambisa oluguudo lwe Ntebbe okuva ku kitebe kya NRM e Kyadondo bwe yabadde agenze okusunsulwamu, nga balina okulemesa bannakibiina kya FDC okuyingira ekkubo okutaataganya entambula ya Pulezidenti.

Onyango agamba nti wakati mu kulemesa aba FDC okuyingira ekkubo, omusirikale waabwe ennyota  yagudde wansi ng’alina okugirondawo wabula si ssimu ng’abannakibiina kya FDC webagamba nti basinzira katambi akali mu kusasaana ku mikutu migata bantu.

Eddoboozi lya Onyango