Poliisi y’e Isingiro ekutte omusajja ku misango gy’okutta muganzi we.

Nga 27, July, 2020 ku ssaawa 5 ez’okumakya ku kyalo Rwekishojwa mu ggoombolola y’e Nyakitunda e Isingiro, omukyala Kyarikunda Sylvia myaka 35 yakubiddwa muganzi we Tumurebire Johnson enkumbi ku mutwe era yafiirawo.

Kigambibwa omusajja Tumurebire yali alumirizza muganzi we  Kyarikunda obwenzi ng’alina abasajja ab’enjawulo nga buli kiro tayagala kwegatta olw’obukoowu.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, Tumurebire ali ku Poliisi y’e Isingiro ku misango gy’obutemu.

Enanga alubudde abantu okweyambisa Poliisi mu bitundu byabwe n’abakulembeze ku byalo singa bafuna obutakaanya okusinga okutwalira amateeka mu ngalo.