Akakiiko k’ebyokulonda kalabude ekibiina kya National Unity Platform NUP ekikulemberwa Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine okwesonyiwa Laangi emyufu kuba si yakibiina kyabwe.
Okusinzira ku Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda omulamuzi Simon Byabakama, ekibiina kya NUP bakitegezaako dda okukyuusa laangi z’ekibiina kyabwe wabula befudde abatawulira.
Byabakama agamba nti Laangi emyufu ya kibiina kya UPC okuva mu 1962 nga aba NUP balina okugyesonyiwa.
Byabakama okubyogera, abadde mu nsisinkano n’abakyala okuva mu kibiina ky’amawanga amagate nga bateese ku ngeri y’okutambuzaamu akalulu mu nkola empya eri ‘Scientific’ mu Kampala.

Eddoboozi lya Byabakama

Wabula omwogezi w’ekibiina kya NUP Joel Ssenyonyi agamba nti ekibiina kyonna oba omuntu yenna alina okwemulugunya ku Laangi y’ekibiina, waddembe okuddukira mu kkooti, okusalawo ku nsonga zonna.