Palamenti ewanjagidde Gavumenti okuggulawo emirimu gyonna, abantu baddemu okunoonya ensimbi wakati mu kulwanyisa Covid-19.
Egimu ku mirimu, omukulembeze w’eggwanga gye yaggala nga balemeddeko baagala aggulewo kuliko amassomero, amasinziko, eby’emizannyo, ebbaala, obutale eri abasuubuzi abatunda engoye, Loogi, ssaako n’emirimu emirala.
Mu Palamenti ebadde ekubirizibwa sipiika Rebecca Kadaga, ekiteeso kireeteddwa omubaka we Bulamogi, Kenneth Lubogo era agamba nti bannayuganda betegefu okuteeka mu nkola engeri zonna ez’okulwanyisa Covid-19 singa bakkirizibwa okudda ku mirimu.
Ku nsonga ezo, Kadaga asigadde yebuuza lwaki Gavumenti ekyagaanye okukkiriza abatunda engoye okudda mu butale, kwe kusaba Gavumenti okuvaayo okutangaaza eggwanga okusinga abantu okufiira mu nnyumba olw’enjala.

Eddoboozi lya Kadaga

Ate Nampala wa Gavumenti Ruth Nankabirwa asuubiza okutwala okusaba kw’abantu eri omukulembeze w’eggwanga okutema empenda ku ngeri y’okubakkiriza okubaggula okuddamu okutambuza emirimu.
Ku nsonga y’okusaba, Nankabirwa agambye nti abantu basobola okusabira awaka n’okusindika ekimu ekye 10 (1 kya 10) nga bayita ku massimu, okutuusa lwe banakkirizibwa okudda mu masinzizo.
Eddoboozi lya Nankabirwa