Sipiika wa Palamenti Rebecca Kadaga alangiridde nga bw’agenda okuwandikira omukulembeze w’eggwanga, okumusaba okutondawo Minisitule avunaanyizibwa ku Bannabitone, kibanguyize mu kutambuza emirimu gyabwe.

Kadaga agamba nti ebitone, omuli okuyimba ne Katemba, bisobodde okuyamba bangi ku bannayuganda okunoga ensimbi okwebezaawo, okuwa Gavumenti omusolo ssaako n’okuwa abantu emirimu nga kyetaagisa okulongoosa etteeka erikwata ku biyiiye (Copy Right) n’okuteekawo Minisitule gye bayinza okuddukira.

Kadaga n'abayimbi ku Palamenti
Kadaga n’abayimbi ku Palamenti

Bw’abadde asisinkanyeko abamu ku bannabitone, abakedde mu offiisi ye nga bemulugunya ku mateeka amaggya agaleeteddwa okulambika omuli okufuna layisinsi ezibakkiriza okuyiiya, okutwala ebiyiiye eri UCC okubyekeneenya n’okuzuula abantu abatuufu abali mulimu gw’okuyiiya, Kadaga agamba nti obutabaawo Minisitule ekola ku nsonga zaabwe, bannabitone basaanze akaseera akazibu ku nsonga ezibanyigiriza.

Eddoboozi lya Kadaga

Mungeri y’emu agambye nti Palamenti teyafuna kadde kamala okwekeneenya amateeka gonna ku bannabitone, nga balina okuddamu ogatesaako n’okwebuuza kw’abo bekikwatako.

Ate bannabitone nga bakulembeddwamu Omuyimbi Halima Namakula bagamba nti amateeka, gagendereddwamu okubalemesa okuyimba, okutumbula talenti zaabwe n’okunyigiriza ekisaawe kyabwe.

Ate munnakatemba Hannington Bujingo, agamba nti bakooye abantu okuteesa n’okuyisa amateeka nga tewali kunoonyereza n’okwebuuza abantu abayinza okubalambika.

Eddoboozi lya Namakula ne Bujingo