Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine, atendereza abantu bonna, abatafuddeyo ku byafaayo bye, wabula ne bamwesiga nti agwanidde okulemberamu, okuleeta enkyukakyuka mu ggwanga.
Kyagulanyi Ssentamu agamba nti bannabitone okumwegatako omuli abayimbi, bannakatemba, kabonero akalaga nti abantu betegefu, okukyusa eggwanga lyabwe.
Okubyogera abadde ku kitebe kye kibiina e Kamwokya mu kwaniriza abakulembeze ab’enjawulo abegase ku NUP omuli n’omuyimbi Ronald Mayinja.

Kinnajjukirwa nti omwezi oguwedde, omukyala Zari Hassan yavaayo nagamba nti Bobi Wine alina okulaga eggwanga oba alina ebisanyizo okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga.
Mungeri y’emu Zari yateeka vidiyo enkadde ku Instragram nga Bobi Wine anywa enjaga okulaga eggwanga nti omuntu gwe baagalizza obwa Pulezidenti bw’eggwanga munywi wa njaga.

Wabula Bobi Wine okulaga nti musajja mugenzi nnyo, ayanukudde Zari mu ngeri ey’enjawulo era asiimye abantu abamulaba nti agwanidde obukulembeze bw’eggwanga nga tebesigamye ku mbeera ze ezemabega nga Zari bw’alowooza.

Eddoboozi lya Bobi

Ku mukolo e Kamwokya, abamu ku bakulembeze abegasse ku NUP, mwemuli omukubiriza w’olukiiko lwa KCCA Abubaker Kawalya, Kansala we Kawempe Muhammed Segirinya, Kansala omukyala owe Lubaga eyamaserengata Farida Nakabugo n’abalala.
Wabula Ronald Mayinja, olukutte Omuzindalo, abikudde ekyama ekyamutwala eri omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni nga yefudde ayingidde NRM.

Eddoboozi lya Mayinja