Poliisi y’e Gulu ekutte omusajja myaka 30 ku misango gy’okusobya ku baana abato.

Farouk Odong nga mutuuze ku kyalo Paromo mu ggoombolola y’e Awach yakwattiddwa.

Maama w’abaana agamba nti Odong yasobya ku baana okuli myaka 2 ne 5 awaka bwe yali atambuddemu nga 29, July, 2020 era kwe kutwala omusango ku Poliisi Awach oguli ku fayiro namba CRR 53/2020.

Patrick Jimmy Okema, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Aswa agambye nti Odong atwaliddwa ku kitebe kya Poliisi e Gulu ku misango gy’okusobya ku baana abato era essaawa yonna bamutwala mu ddwaaliro okumwekebejja obwongo.

Mungeri y’emu agambye nti alipoota y’abasawo okuva ku Awach Health Centre IV ekakasizza nti abaana baasobezeddwako era baweereddwa eddagala okubatangira okulwala.

Alipoota y’abasawo eraga nti abaana 13, 613 baasobezebwako mu 2019 nga kuliko abawala 13,441 n’abalenzi 241 ate 15,366 mu 2018.