Omusajja Joseph Kintu addukidde mu kkooti enkulu mu Kampala ng’avunaana aba Maristopes Uganda, ekitongole National Drug Authority-NDA ne Gavumenti olw’obulagajjavu nga y’emu ku nsonga lwaki yalwala Mukenenya n’enziku.

Mu kkooti, Kintu ayagala aba Maristopes okunoonyereza okuzuula abantu abalwala oluvanyuma lw’okuteeka ku katale Kkondomu enfu.

Agamba nti yagula Kkondomu za Life Guard okuva ku Shifah Pharmacy mu disitulikiti y’e Ibanda kyokka oluvanyuma lw’okunyumya akaboozi ne muganzi we, yafuna okulumizibwa mu bitundu by’ekyama, kwe kuddukira mu ddwaaliro okwekebeza omusaayi ne bamutegeeza nti mulwadde.

Ayagala kkooti, okulagira aba Maristopes okugibwako layisinsi ezibakkiriza okuleeta kondomu mu ggwanga n’okuvunaana Gavumenti ne NDA olw’obulagajjavu.

Omwaka oguwedde ogwa 2019 mu November, aba Marie Stopes Uganda bategeeza nga bwe waliwo kkondomu za bika bibiri ezirambiddwaako ennamba okuli “19040205 ne 19050105” ezitatuukana na mutindo nga ziri ku katale Bannayuganda ze balina okugenderera.

Dr. Carole Ssekimpi akulira Marie Stopes Uganda yategeeza nti ebika ebyo byazuuliddwa nga tebituukana na mutindo gwa kkondomu ezirina okubeera ku katale era yasaba buli muntu yenna alina kkondomu eziteereddwaako ennamba ezo okuzibatwalira, bamuddize ssente ze.