Amawulire okuva e Luzira galaga nti eyali omuyima w’ekibiina kya boodabooda 2010 Abdallah Kitatta ayimbuddwa okuva mu kkomera.

Abakulembera ekkomera Luzira bayimbudde Kitatta n’omukuumi we Sowali Ngobi akawungeezi ka leero oluvanyuma lwa kkooti y’amaggye ejjulirwamu, okumukendereza ku kibonerezo.

Kitatta bamusingisa emisango omuli okusangibwa emmundu ssaako n’ebintu by’amaggye mu ngeri emenya amateeka era nga 13, Ogwokutaano, 2019, kkooti y’amaggye ng’ekubirizibwa Lt. Gen. Andrew Gutti, yasiba Kitatta emyaka 10 n’omukuumi we Ngobi.

Wabula bannamateeka ba Kitatta nga bakulembeddwamu Abdullah Kiwanuka, baddukira mu kkooti y’amaggye ejjulirwamu nga bawakanya eky’okusiba omuntu waabwe 10 nga n’emisango egimuvunaanibwa migingirire.

Enkya ya leero, abalamuzi 6 mu kkooti y’amaggye e Makindye nga bakulembeddwamu Elly Turyamubona, bakendezezza ekibonerezo okuva ku myaka 10 okudda ku myaka 3 nga basinzira ku bujjulizi obuleteddwa bannamateeka ba Kitatta.

Munnamateeka Kiwanuka agamba nti kkooti ekiriziganyiza nti Kitatta baamusiba emyaka mingi ate nga musajja wa famire nga n’emmundu egambibwa nti bamusaanga nayo, teyagikozesa kumenya mateeka.

Mungeri y’emu agambye nti ku myaka 3 Kitatta gye bamusalidde, asigaza emyezi 5 gyokka mu kkomera e Luzira, singa batoolako ebbanga ly’amaze mu kkomera okuva nga 13, Ogwokutaano, 2019 lwe baamusalira okusibwa emyaka 10 ne bbanga lye yamala ku limanda.

Wabula olutuuse mu kkomera e Luzira, abakulu bamuyimbudde ne Ngobi.

Frank Baine omwogezi w’ekitongole eky’amakkomera agambye nti, Kitatta ne Ngobi bayimbuddwa olwaleero ku ssaawa 10 ez’akawungeezi, oluvanyuma lwa kkooti okukendeza ku kibonerezo kyabwe.
Agamba nti okukendeza ekibonerezo kiraga nti Kitatta ne Ngobi baali balina okuyimbulwa 7, July, 2020 era y’ensonga lwaki bayimbuddwa.

Eddoboozi lya Baine