Eyali omuyima w’ekibiina kya boodabooda 2010 Abdallah Kitatta asigazza emyezi 5 okuva mu kkomera e Luzira oluvanyuma lwa kkooti y’amaggye ejjulirwamu, okumukendereza ku kibonerezo.

Kitatta bamusingisa emisango omuli okusangibwa emmundu ssaako n’ebintu by’amaggye mu ngeri emenya amateeka era nga 13, Ogwokutaano, 2019, kkooti y’amaggye ng’ekubirizibwa  Lt. Gen. Andrew Gutti, yasiba Kitatta emyaka 10 n’omukuumi we Sowali Ngobi.

Wabula bannamateeka ba Kitatta nga bakulembeddwamu Abdullah Kiwanuka, baddukira mu kkooti y’amaggye ejjulirwamu nga bawakanya eky’okusiba omuntu waabwe 10 nga n’emisango egimuvunaanibwa migingirire.

Enkya ya leero, abalamuzi 6 mu kkooti y’amaggye e Makindye nga bakulembeddwamu Elly Turyamubona, bakendezezza ekibonerezo okuva ku myaka 10 okudda ku myaka 3 nga basinzira ku bujjulizi obuleteddwa bannamateeka ba Kitatta.

Munnamateeka Kiwanuka agamba nti kkooti ekiriziganyiza nti Kitatta baamusiba emyaka mingi ate nga musajja wa famire nga n’emmundu egambibwa nti bamusaanga nayo, teyagikozesa kumenya mateeka.

Mungeri y’emu agambye nti ku myaka 3 Kitatta gye bamusalidde, asigaza emyezi 5 gyokka mu kkomera e Luzira, singa batoolako ebbanga ly’amaze mu kkomera okuva nga 13, Ogwokutaano, 2019 lwe baamusalira okusibwa emyaka 10 ne bbanga lye yamala ku limanda.

Eddoboozi lya Kiwanuka

Kiwanuka era agambye nti wadde Kitatta asigaza ebbanga ly’emyezi 5 okuva e Luzira, bageenda kujjulira okumuggyako emisango gyonna, okusobola okulongoosa erinnya lye.