Poliisi y’e Buwama ekutte omusajja  ku misango gy’okudda ku mwana omuto mwaka gumu n’emyezi 7 namusobyako era omwana yasangiddwa maziga nga yenna atonnya musaayi ku kyalo Buwama B mu ggoombolola y’e Buwama mu disitulikiti y’e Mpigi.

Omusajja Bamuyana Shaban myaka 26 yakwattiddwa ku by’okusobya ku mwana wa mukyala we  Nisiima Evelyn.

Omukyala Nisiima agamba nti muganzi we yabadde amukyalidde, naamulekera omwana okudduka okukima emmere mu Katale kyokka bwe yabadde akomawo, kwe kusaanga muganzi we mu kkubo nga yeefudde afunye Pulogulamu.

Agamba nti yadduse, okutuuka mu nnyumba ng’omwana ali maziga, yenna atonnya musaayi mu bitundu by’ekyama era ng’omusajja amusamulidde amazzi g’ekisajja ku bisambi.

Fred Enanga, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga agamba nti Poliisi etandiise okunoonyereza era omusajja Bamuyana ali mu mikono gyabwe ku misango gy’okusobya ku mwana.

Eddoboozi lya Enanga