Omuyimbi Edrisa Musuuza amanyikiddwa nga Eddy Kenzo alabudde abayimbi, okusigala nga bali wamu, mu kulonda okubindabinda okwa 2021.

Kenzo agamba nti abayimbi, tebalina kulaga ludda ku bantu abegwanyiza obukulembeze mu ggwanga nga kigenda kwawulamu abantu babwe.

Agamba nti wadde buli muyimbi alina omuntu gwe yandyagadde okulya obukulembeze mu ggwanga, balina okwewala okulaga oludda wadde ekibiina kyawagira, kuba kigenda kutumbula obukyayi.

Kenzo mu kwogerako eri bannamawulire ku FairWay Hotel, Kampala, alabudde abayimbi okusigala nga bali kitole n’okwesonyiwa okuyingira mu byobufuzi okusinga okudda mu kwerangira ebisongovu, ekigenda okusanyalaza Talenti zaabwe.

Mungeri y’emu alabudde abagamba nti Pulezidenti w’ekibiina ki NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu Bobi Wine tayogerwako.

Kenzo agamba nti Bobi, okuvaayo okulaga nti yegwanyisa obukulembeze bw’eggwanga, alina okwogerwako.

Eddoboozi lya Kenzo