Kyaddaki omubaka omukyala owe Kasese, Winnie Kiiza yegasse ku kibiina Alliance for National Transformation (ANT) mu butongole, ku mukolo ogubadde ku kitebe ky’ekibiina ku Buganda Road mu Kampala enkya ya leero.

Omukolo gw’okumwaniriza gukulembeddwamu Pulezidenti w’ekibiina Gen Mugisha Muntu era kubaddeko n’okusala ceeki wakati mu kusagambiza.

Kizza One

Winnie Kiiza avudde mu kibiina kya FDC era yaliko omukulembeze w’oludda oluvuganya Gavumenti mu Palamenti.

Agenze okwegata ku kibiina kya ANT, nga yakamala okulangirira, nga bw’ategenda kuddamu kwesimbawo mu kulonda okubindabinda okwa 2021 ng’omubaka omukyala owe Kasese.

Mu kwogera kwe, agambye nti wadde tagenda kuddamu kwesimbawo, akyali mu lutalo lw’okulwana okuleeta enkyukakyuka mu ggwanga.

Mungeri y’emu agambye nti okwegatta ku ANT alina esuubi, okweyagala ng’ali mu kibiina ekipya n’okulwanirira eddembe ly’abannansi.

Kizza Two

Gen Muntu mu kwaniriza Winnie Kiiza agumizza eggwanga nti enkyukakyuka ejja essaawa yonna olw’abantu nga Kiiza okuvaayo okubegattako.

Mu kiseera kino, yakaaniriza abakiise ba Palamenti 4 abamwegaseeko omuli Kiiza, Kassiano Wadri, Paul Mwiru ne Gerald Karuhanga.

Muntu One