Omuyimbi Shafik Walukagga amanyikiddwa nga Fik Fameica atwaliddwa mu kkooti lwa kutyoboola kitiibwa ky’abakyala ssaako n’abaana abawala ng’ayita mu luyimba ‘property’.

Mu kkooti enkulu, Fameica atwaliddwayo ne Polodyusa we Martin Musoke amanyikiddwa nga Artin Pro ssaako n’ekitongole ekirondoola eby’empulizigannya mu ggwanga ekya Uganda Communications Commission (UCC) olw’okulemwa okulambika abayimbi.

Mu kkooti enkulu, omukyala Prasidia Nagasha ate nga munnamateeka agambye nti oluyimba ‘Property’ lutyoboola ekitiibwa ky’abakyala n’abaana abawala ssaako n’okubayisaamu amaaso.

Munnamateeka Nagasha ayagala kkooti eragire Fik Fameica ne Polodyusa Artin Pro okwetonda nga beyambisa emikutu gyonna egy’ebyempuliziganya omuli Laadiyo, Ttiivi, Youtube n’emikutu emirala.

Mungeri y’emu agambye nti kiwebuula abakyala n’abaana abawala, Fameica okuyimba nti abakyala pulopate ye, Chapati, Yogati, Bugatti, kwe kusaba kkooti, okuyisa ekiragiro okuyimiriza oluyimba “Property” ku mikutu gyonna mu ggwanga.

Kinnajjukirwa nti eyaliko nnalulungi wa Africa Quinn Abenakyo y’omu ku basooka okuvaayo oluvanyuma lw’okuwangula nga naye awakanya oluyimba ‘property’ n’okusaba okuluwera wabula teyawangula.