Munnamaggye eyawumula eyeegwanyiza obukulembeze bw’eggwanga lino Lt Gen Henry Tumukunde akwattiddwa mu Monicipaali y’e Njeru mu disitulikiti y’e Buikwe.

Tumukunde bamukwattidde ku Royal Paradise Hotel bw’abadde asisinkanye abamunoonyeza akalulu era Poliisi emukutte, ebadde ekulembeddwamu Hilary Mukiza akulira Poliisi y’e Njeru.

Atwaliddwa ku Poliisi y’e Njeru okubaako ensonga z’okwanukula ng’ali mu kabangali ya poliisi namba UP5503.

Rtd. Lt Gen Henry Tumukunde

Wabula Sheikh Abubaker Kayiwa omu ku basaangiddwa ne Gen. Tumukunde agambye nti tamanyi nsonga lwaki omuntu waabwe akwattiddwa.

Sheikh Kayiwa agamba nti abasirikale bagambye nti ebiragiro bivudde waggulu, Gen. Tumukunde okumukwata.

Gen. Tumukunde ku Poliisi y’e Njeru

Hellen Butoto, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Ssezibwa akakasizza eby’okukwata Gen. Tumukunde wabula agaanye okulambulula lwaki akwattiddwa.

Vidiyo