Obukyayi okwerangira ebisongovu ssaako n’obutakaanya wakati wa sipiika wa Palamenti Rebecca Alitwala Kadaga ne Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byettaka Persis Namuganza byongedde okweyoleka, mu Kampeyini nga bannakibiina kya NRM, banoonya abakulembeze 9 abagenda okutuula ku lukiiko lw’okuntiiko olwa Central Executive Committee (CEC).
Olunnaku olw’enkya ku Lwokuna, bannakibiina kya NRM abatuula ku lukiiko olwa National Executive Council (NEC) lwebagenda okulonda abakulembeze 9, ng’olunnaku olwaleero, Kampeyini zikomekerezeddwa ku kitebe e Kyadondo ng’abasinzira ku TV okusaba akalulu.
Sipiika Kadaga ng’atunka ne Minisita Namuganza ku ky’okumyuka ssentebe owokubiri ng’omukyala, agambye nti atunze Uganda mu nsi ez’enjawulo, ye mukyala eyasooka okuteekawo ekibiina kya bannamateeka mu Uganda, yali musaale mukutandikawo ‘Daycare’ ku palamenti eyasooka mu Uganda, akoze kyamaanyi mu kulwanirira eddembe ly’abaana abawala era zezimu ku nsonga lwaki akomyewo okuddamu okwesimbawo.

Eddoboozi lya Kadaga

Wabula Namuganza, bw’atuuse okunoonya akalulu, agambye nti Kadaga y’omu ku bakulembeze mu NRM abasukkiridde okuzimuula ebisaliddwawo ekibiina era yakola nsobi, okuwa Palamenti omukisa okuyisa ekiteeso, nga bavumirira ssentebbe w’ekibiina Yoweri Kaguta Museveni olw’okulumba Palamenti ku ssente obukadde 20 zebaafuna buli omu okuyambako mu kulwanyisa Covid-19.
Namuganza wakati mu kulambulula ensonga, amyuka sentebe wa NRM mu ggwanga Hajji Moses Kigongo ayingidde mu nsonga era amulabudde okulaga byagenda okolera ekibiina okusinga okudda mu kulumba Kadaga.

Namuganza ne Kigongo

Kampeyini wezigweredde nga bannakibiina bonna abesimbyewo basuubiza okusosowaza ensonga z’ekibiina singa balondebwa olunnaku olw’enkya.