Kyaddaki Dr. Kizza Besigye tagenda kuddamu kwesimbawo ku bwa Pulezidenti bwa Uganda mu kulonda kwa 2021.

Besigye avuganyiza ku bwa Pulezidenti bwa Uganda emirundi 4 era bikudde ekyama nti bakiriziganyizza ne banne wabeewo akulembera pulaani A nga kati ye agenze ku pulaani B.

Mu kwogerako eri bannakibiina kya Forum for Democratic Change (FDC) ku kitebe e Najjanankumbi, Besigye agambye nti wadde tagenda kuddamu kwesimbawo mu kulonda kwa 2021, agenda kuwagira omuntu yenna FDC gw’ereese.

Mungeri y’emu agambye nti akyali ku mulamwa okulwanirira enkyukakyuka mu ggwanga era wadde takomawo, ekyali mu lutalo.

FDC kati erina abantu 2 abaggyeeyo ffoomu z’okwewandiisa okukwata kaadi y’ekibiina ku bwa Pulezidenti bwa Uganda mu 2021 okuli Ssentebbe w’ekibiina Wasswa Birigwa ne Pulezidenti w’ekibiina Patrick Oboi Amuriat era bagenda kusunsulwamu nga 25 ne 26, August, 2020.

Wabula abamu ku bannayuganda bagamba nti Besigye abadde mutuufu nnyo obutaddamu kwesimbawo kuba Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) amusiinga amaanyi mu kiseera kino.

Abalala bagamba nti Besigye atidde okuswala kuba mu kiseera kino bangi ku bavubuka, bali mabega wa Bobi Wine.