Ssentebbe w’ekibiina ki NRM era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni alabudde bannayuganda okuggya omuzannyo mu kulwanyisa Covid-19.

Museveni agamba nti bannayuganda balina okulabira ku bigenda mu maaso mu nsi endala kyokka bo bagaanye ogondera amateeka omuli okwambala masiki, okunaaba mu ngalo, okwewa amabanga era byonna balina okubisasulira.

Muzeeyi Museveni agamba nti obulamu, businga obugagga kyokka ekyewunyiza bannayuganda okudda mu bulagajjavu.

Mungeri y’emu agambye nti mu Kampala, Kolona ayongedde okusasaana nga kivudde ku bannayuganda obutafaayo n’okuwudisibwa bakulembeze abali mu kuzanyira mu nsonga.

Okubyogera, Museveni abadde eyogerako eri bannakibiina ki NRM, abatudde mu State House Entebe nga balinze kubategeeza bawangudde ku lukiiko lw’okuntiko olwa Central Exective Committee (CEC).

Mungeri y’emu avumiridde Bannayuganda, abasukkiridde okweyambisa emitimbagano omuli ogwa Face Book mu ngeri ewebuula abakulembeze n’okutuuka okubika Ssaabasajja Kabaka Ronald Edward Frederick Kimera Muwenda Mutebi II.

Museveni agamba nti Poliisi etandiise okunoonyereza, ku bantu bonna abenyigidde mu kutambuza amawulire ag’obulimba ku Maasomoogi, okuzuula ekigendererwa kyabwe.

Eddoboozi lya Museveni

Ku nsonga y’okulonda, okwabadde mu ggwanga omuli abakadde, abaliko obulemu n’abavubuka, Museveni asiimye bannayuganda abakyalina obwesiga mu kibiina n’okuddamu okulonda bannakibiina ki NRM.

Agamba nti NRM okutambulira ku mulamwa n’okutuukiriza ebisuubizo byayo, bannayuganda boongedde okugyesiga.