Bannayuganda boolekedde okudda ku muggalo olw’omuwendo gw’abantu abalina Covid-19 okweyongera mu ggwanga ssaako n’abatandiise okufa.

Okusinzira ku Minisitule y’ebyobulamu, Uganda efiiriddwa abantu 3 ku lunnaku lumu nga bonna batuuze mu Kampala n’okuzuula abantu 94 ng’abalwadde era ku lunnaku lumu.

Mu Kampala, abafudde Covid-19 kuliko abasajja 2 okuli myaka 45, 31 n’omukyala omu myaka 57 eyatwaliddwako malwaliro ag’enjawulo mu Kampala.

Minisitule egamba nti ku bantu 3,046 abaakebeddwa olunnaku olw’eggulo, 94 bebazuuliddwa nga balwadde ng’abasukka 50 bazuuliddwa mu Kampala ne Wakiso.

7 baddereeva ku nsalo y’e Busia ne Elegu, 33 kigambibwa baaliko n’abantu abalwadde ne balwala ate 1 y’omu ku bakomyewo okuva mu ggwanga erya Kenya, eyakebeddwa nga mulwadde.

Uganda mu kiseera kino yakafuna abalwadde 1,750, yakafiisa abantu 19 ate 1,194 bebakasiibulwa.