Kyaddaki Poliisi ekutte abantu 3 ku misango gy’okutta omuntu, bagiyambeko mu kunoonyereza.

Abakwattiddwa, bali ku misango gy’okutta Moses Mutayomba myaka 40, abadde omutuuze ku kyalo Bangole mu ggoombolola y’e Malangala mu disitulikiti y’e Mityana, eyattibwa sabiti ewedde ku Lwokutaano nga 21, omwezi guno Ogwomunaana.

Abakwate kuliko Ssegirinya Faisal ne Swalleh Badru Ssuna ku misango gy’obutemu.

Fred Enanga, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga agambye nti ensonga eyattisa Mutayomba, tennazuulibwa wabula Poliisi eyongedde amaanyi mu kunoonyereza.